Download Bakkolinso 1 Ne 2 Q3 2026 Luganda Sabbath School Pdf
Ekinyusi Ky’obulamu Obukristayayo n’okuweera Obujulirwa
Okuwandiika amabuluwa kimu ku bikolwa ebyedda ennyo ebitadibizibwa [yadda nga emirembe gikyuse nnyo]. Tukyusizzaamu bukyusa mu ngeri amabaluwa gye tugawandikamu. Kituufu, Emikutu emigatta bantu gyasukulumako ku mpapula. Wabula, Mu butuufu obubaka bwokumitimbagano (emails) nengeri endala ezamabaluwa agokubyuma bikalimagezi bikola omugaso gwe gumu: bigatta abantu nga bitambuza amawulire, ennewulira, awamu nendowooza zabantu.
Abantu lwaki bwandiika amabaluwa? Ekyokuddamu Mpozzi kyandibadde nti-Kubanga galina kyegoogera. Bwekityo bwe kyali ne ku mutume Pawulo. Wadde Yalina bingi nnyo ebyokwogera, ssi bulijjo nti yalina omukisa okulaba maaso ku maaso abo be yayagalanga okwogera nabo.
Bwatyo kye yakola kwe kuwandiika amabaluwa okugeza, eri Abakkolinso, Agaalimu agamu ku mazima agasinga obukulu mu Byawandiikibwa byonna. Agamu ku go ge gano: “Kubanga nnamalirira obutamanya kigambo mu mmwe, wabula Yesu Kristo era oyo eyakomererwa (1Kil 2:2), ne “Kubanga mutegeera ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, nti bwe yali omugagga, naye nafuuka omwavu ku lwammwe bwavu bwe bulyoke bubagaggawaze mmwe” (2Kol. 8:9). Yogera ne ku luyimba lwomukwano olunyuvu luli mu 1 Bakkolinso 13!
Ku mukono guli, buli asoma amabaluwa ga Pawulo ge yawandiikira Abakkolinso, watali kubuusabuusa, ajja kusoberwa, ssi lwa bizibu ebineene ebyali mu kkanisa nga obwenzi – naye era nolwokwerumaaluma okwava mu kwesalaasalamu okwekisirukisiru mu bammemba bekkanisa. Gwe bwobeera awo nolowooza nti ekkanisa yo yesinga okuba nebigisoomooza, weetegeke okulaba entuumu yokukyokyolikana okwali mu kkolinso Pawulo kwe yalina okukolako. Obwolyawo ebizibu byekkanisa yewammwe ssi binnene nyo bwoyinza okubiroozaako! Bwetaabe ntaanye, bwonoosoma ku miteeru egyali mu kkolinso, Ojja Kulaba Nga Ggwe egigyo biwero.
Yesu akomawo mangu nnyo, Kino kyekiseera ekyokwongera okubeera obumu mu Kristo, ekyokubeera abaggule eri Omwoyo Omutukuvu nga bwe kitabangawo, ekyokukozesa ekinnawadda ebirao byomwoyo Omutukuvu, weppo nokwongera okulaba mu ngeri enzigumivu, Mukama waffe eyazuukira. Kyekiseera kyomulimu gwe kikristayo omwesimbu okukolebwa, nga twenyigira mu buwanika awamu nobuweereza obulala, okulwanyisa enjigiriza enkyamu, okukula mu kwagala, awamu noukuungaana. Kino kyekiseera ekyokunywera nokubeera abeesigwa eri obubaka bwomusaalaba, era amabaluwa ga Pawulo era Abakkolinso ekyo kye gatuyigiriza ddala okukola.
Adenilton Tavares de Aguiar, phD, Pulofeesa Wokutaputa ENdagaano EMpya ku Ttendekero Li Northeast Adventist College Mu Kibuga Cachoeira, Bahia, ekyamu Brazil, eyo gyaweererezza Okuva mu 2010.






