Ekitabo Kya Makko Q3 2024 Luganda Lesson PDF Download

 

Enjiri ya Makko

Okuviira ddala ku ntandikwa ya Makko, omusomi ategeera Yesu ky’ali- Masiya, Omwana wa Katonda (Makko 1:1). Kyokka, abantu b’omu lugero luno bameggana n’okutegeerera ddala [Yesu] ye ani era kiki ky’aliko oba ky’ategeeza okuggyako abo abaliko dayimooni. Bano bo bamanyidde ddala ye ani! Baddayimooni bamutegeera era bakongerera mu maaso g’ebigambo bye ebyokya ng’omuliro.

Kyokka Yesu alagira abantu bakuume ebigambo bino nga bya kyama. Lwaki okwekisiza? Abayizi ba Bayibuli okumala ebikumi n’ebikumi by’emyaka babaddenga beewuunaganya olw’ekibuuzo kino. Kino kirina n’erinnya mu by’okusoma Ekyama kya Masiya. Lwaki enjiri yanditulagidde okusirikira Yesu ky’ali?

Ekinaafuuka ekitangaavu ennyo mu lugendo luno okuyita mu Njiri ya Makko yonna kiri nti ekitabo kino tekiriimu kwekisiza kwokka-mwanattu kirimu. n’okubikkulirwa okwewuunyisa. Mu butuufu kiyinza okuyitibwa Ekifaananyi kya Kubikkulirwa/oba Ekifaananyi ky’ Okwekisiza, era kiddukira mu Njiri ya Makko yonna, newankubadde ku nkomerero ebyama eby’okwekisiza byonna, mu ngeri eyeewuunyisa, bikoma, ne biddirirwa mu kifo kyabyo okubikkulwa kwa Yesu okw’amaanyi.

[Ekitabo kya] Makko mu butuufu kiyinza okugabanyizibwamu ebitundu bibiri ebyenkanankana. Okuva ku ssuula esooka okutuuka ku nkomerero y’ey’omunaana wonna wali ku kibuuzo ekikulu, Yesu ye Ani? Eky’okuddamu kiragibwa mu kuyigiriza kwe awamu n’eby’amagero bye. Emirundi n’Emirundi afufuggaza obubi, n’aleeta essuubi eri abajoogebwa, era n’ayigiriza amazima agasika ggwe wamma agasalira ddala mu mutima gw’obulamu bw’omuntu. Bino byonna byogerera waggulu eri omusomi nti ye Masiya, Kristo, oyo abantu Abaebbulaniya gwe bamaze ekiseera ekiwanvu nga balindirira.

Kyokka, kyalinda kutuuka eno mu makkati g’ekitabo omuntu omu ataaliko dayimooni n’alyoka ayatulira ddala Ye ani, bw’atyo n’ayanukula ekibuuzo ky’ekitundu ky’ekitabo kino ekisooka ekikwata ku kutegeera Kristo. Era omuntu oyo ssi mulala, ye Peetero. Agamba, “Ye ggwe Kristo'” (Makko 8:29).

Ekitundu kya Makko eky’okubiri, okuva ku Makko 8:31 okutuuka ku nkomerero y’ekitabo kino, kyanukula ekibuuzo kiri ekirala, Yesu agenda wa? Eky’okuddamu kyewuunyisa. Agenda ku musaalaba, engeri y’okufa esinga okuba ey’omutawaana era ey’obuswavu mu nsi y’ Abarooma. Buno bwe buddo bwa

Masiya obutasuubirwa, oyo abagoberezi be gwe baalowooza nti ajja kufufuggaza Rooma era afuule Isiraeri eggwanga kirimaanyi, linnaggwano.

Abayigirizwa be empalakitale tebayinza kutegeera n’akatono Yesu ky’ayogerako. Ng’ekitabo kyeyongerayo, basemmengerera mpola mpola mu kubuuza ku nsonga eno ey❜obulumi, okutuusa oluvannyuma lwe basirikira ddala mu maaso g’amazima gano agatanyuma.

Ebintu birabika ng’ebyeyongera obweyongezi okwonooneka Yesu bw’atabukira abakulembeze b’eddiini abapanga okuzikirizibwa kwe. Abayigirizwa, nga basuubira obwakabaka obw’ekitiibwa, beewuunya olw’okukwatibwa, okuwozesebwa, n’okukomererwa [kwa Kristo] -ebintu ebigenda ne bikubira ddala okusuubira kwabwe ekkonde tonziriranga.

Naye okuyita mu bino byonna, Yesu agenda mu maaso n’okuwa obubaka obutangaavu era obutakyukakyuka ku wa gy’agenda era na ki kye kitegeeza nti ajja kufa ate azuukire oluvannyuma. Omugaati n’ekikompe eby’oku Ky’eggulo Ekisembayo bijja kutegeeza mubiri gwe na musaayi gwe (Makko 14:22-25), era y’ajja okufuuka omutango olw’abangi (Makko 10:45).

Kino tekitegeeza nti agenda ku musaalaba mu bukkakkamu obuwedde emirimu. Mu Gesusemaani alwanagana n’okusalawo (Makko 14:32-42), era ne ku musaalaba kwennyini akaabira waggulu mu kusoberwa,“ Katonda wange, Katonda wange, Iwaki ondekeredde?”” (Makko 15:34). Enjiri ya Makko etulaga ekizikiza Kristo kye yalegako, omuwendo gw’obulokozi bwaffe. Naye omusaalaba ssi y’enkomerero y’olugendo lwe. Oluvannyuma lw’okuzuukira, asisinkana abayigirizwa be e Ggaliraaya-era, nga bwe tumanyi, ekkanisa y’obukristaayo n’etandikira awo, n’eyanya.

Lwe lugero olusinga okuvaayo ennyo, olunyumizibwa mu ngeri ennyangu, era eyanguyiriza nga n’omuwandiisi yennyini alina bitono nnyo by’alwogerako mwene. Olugero luno anyumya lunyumye era aleka ebigambo n’ebikolwa ebirulimu ne byeyogerera ku bulamu n’okufa kwa Yesu Omunazaaleesi. Thomas R. Shepherd, PhD, DrPH, kakensa omukulu mu by ‘okunoonyereza ku Ndagaano Empya ku Ssomero ly ‘Eby ‘eddiini ery ‘Abaadiventi, ku Ssettendekero Andrews. Ye ne mukyala we, Sherry balina abaana babiri abattuludde, we ppo n’abazzukulu mukaaga

Download Luganda Lesson Here

Eky’okuyiga 1 | Ssebo ‘aseka (June) 29-Kasambula (July) 5

Entandikwa y’Enjiri

SSABBIITI OLW’EGGULO

Soma olw’Eky’okuyiga kya Wiiki Eno: Bikolwa 13:1-5, 13; Bikolwa 15:36-39; Makko 1:1-15; Isa. 40:3; Dan. 9:24-27.

Olunyiriri olw’Okujjukira: 614 Awo oluvannyuma Yokaana ng’amaze okuweebwayo, Yesu n’ajja e Ggaliraaya, ng’abuulira enjiri ya Katonda, “ng’agamba nti ‘Ekiseera kituuse, obwakabaka bwa Katonda busembedde, mwenenye, mukkirize enjiri’ ” (Makko 1:14, 15). Ani yawandiika Enjiri ya Makko, era lwaki [enjiri eno] yawandiikibwa? Tewali Njiri eyogera linnya lya muwandiisi waayo. Esemberera ennyo okukola kino y’eya Yokaana, esonga ku muyigirizwa omwagalwa (laba Yokaana 21:20, 24) ng’omuwandiisi waayo.

Kyokka, okuviira ddala mu biseera ebyasooka buli emu ku Njiri ezaawandiikibwa eriko omutume gwe yeekuusaako (Matayo, Yokaana) oba mu kuyambibwako omutume. Eky’okulabirako, Enjiri ya Lukka yeekuusa ku Pawulo (laba Bakol. 4:14, 2 Tim. 4:11, Fir. 1:24). Enjiri ya Makko yeekuusa ku Peetero (laba 1 Peet. 5:13).

Newankubadde omuwandiisi wa Makko tatuwa wantu wonna linnya lye mu biwandiiko bye, obuwangwa bw’ekkanisa eyasooka bulaga nti omuwandiisi w’Enjiri ya Makko yali Yokaana Makko, oluusi eyatambulanga ne Pawulo awamu ne Bbanabbaasi (Bik. 13:2, 5) era n’oluvannyuma omubeezi wa Peetero (1 Peet. 5:13).

Eddaala erisooka mu wiiki eno lijja kuba lya kuyiga ku Makko nga bw’ayogerwako mu Byawandiikibwa, okulaba okulemererwa kwe okwasooka awamu n’okudda kwe engulu oluvannyuma. Oluvannyuma okuyiga kujja kukyuka kudde ku kitundu ekitandika Makko nga we wali okutunula mu maaso ku wa emboozi gy❜egenda era n’okutunula emabega ku lwaki omuminsani eyalemererwa oluvannyuma n’azzibwawo yandiwandiise ekiwandiiko ng’ekyo.

*Yiga eky ‘okuyiga kya wiiki eno weetegekere Ssabbiiti nga Kasambula 6.

WANGU (SUNDAY) | Ssebo aseka (June) 30

Omuminsani Eyalemererwa

Soma Bikolwa 12:12. Makko ayanjulwa atya mu kitabo kya Bikolwa?

Yokaana Makko, y’asinga okulabika nti ye muwandiisi w’Enjiri ya Makko. Ono yali muvubuka muto ebintu ebyogerwako mu Bikolwa we byabeererawo, awo nga mu makkati g’emyaka gya A.D. 40. Ayanjulwa mu lunyiriri 12 nga mutabani wa nnakabutuzi ayitibwa Maria. Ebintu bingi biraga nti ono yali muwanirizi wa kkanisa wa lulango, nga mugagga era batugamba nti ono yategeka n’olukuuŋaana lw’okusaba mu maka ge olwayatiikirira ennyo mu Bikolwa 12. Olugero lw’okutoloka kwa Peetero okuva mu kkomera n’ebikolwa ebyaddirira, n’oluvannyuma okufa kwa Kerode, lulimu okukontana okwogi wakati wa Peetero ne kabaka. Yokaana Makko talina kitundu kinene kiri awo ky’azannya mu lugero luno, naye okwanjulwa kwe mu kiseera kino kumuteekateeka olw’okukwatagana okw’omu maaso ne Balunabba we ppo ne Sawulo.

Soma Bikolwa 13:1-5, 13. Yokaana Makko yakwatagana atya ne Sawulo ne Balunabba, era kiki ekyavaamu?

Bikolwa 13 wannyonnyola olugendo lwa Sawulo ne Balunabba olw’obuminsani olwasooka, olwatandika nga mu A.D. 46. Yokaana Makko tayogerwako okutuusa ku lunyiriri 5, era ekitundu kye kya muyambi buyambi oba omuweereza. Tewali kusonga kulala kwonna kukolebwa ku muvubuka ono okutuusa ku lunyiriri olw’e 13, eyo ebigambo ebimpimpi gye bimwogererako nti yaddayo e Yesusaalemi.

Tewali nsonga eweebwa Iwaki yabulawo, era kino kireetawo embeera y’okuteebereza obuteebereza kiki ekiyinza okuba nga ky’ekyamuviirako okulekayo omulimu gw’enjiri, awatali kubuusabuusa, ogwalimu embeteza ko n’okusoomooza okutagambika. Ellen G White alaga nti “Makko, ng’abuutikiddwa okutya n’okumalibwamu amaanyi, yawaba okumala akaseera bwe yakeŋŋentererwa mu kwewaayo kwe okw’omu mutima eri omulimu gwa Mukama. Ono eyali teyamanyiira mbeera ya kukaluubirizibwa, yatya nnyo embeera y’okukaluubirirwa awamu n’okwegaanyisa eyali mu lugendo luno.”- The Acts of the Apostles, omuko 169. Mu bumpimpi, ebintu byamukaluubirira bukaluubirizi musajja wattu, n’alabira ddala nga akaka bikake; kye yava abinnyuka, anti bulijjo emyungu emiwagiikirize tegifumba.

Ani atalina lwe yava ku kintu ekimu, oba n’oluusi n’akereberera ddala mu kukikola, na ddala mu by’omwoyo oba mu lugendo lw’Ekikristaayo? Kiki kye wayiga mw’ekyo ekyakubaako?

KAZOOBA (MONDAY) | Kasambula (July) 1

Omukisa Ogw’okubiri

Soma Bikolwa 15:36-39. Lwaki Peetero yagaana Yokaana Makko, era lwaki Balunabba yamuwa omukisa ogw’okubiri?

Ensonga y’okugaana kwa Pawulo omuvubuka ono eweebwa mu Bikolwa 15:38. Makko yali yabaabulira we baasingira okumwetaaga mu Mulimu. Endowooza ya Pawulo etegeerekeka, kubanga eyawukana ku zinnaazo y’efuuka kaasa. Obulamu bw’ekiminsani, n’okusingira ddala mu nsi eyasooka, bwali buzibu era nga bubanja kinene (geraageranya ne 2 Kol. 11:23-28). Pawulo yeesigamanga ku baminsani banne okumuyambako okumusitulira ku mugugu gw’Omulimu. Bambi gwalimu okusoomooza kungi ate nga n’embeera gye bagukoleramu tewoomya ttooke. Mu ndaba ye, oyo eyabavaako amangu gatyo yali tagwana kifo ku kibiina ekyali kirwanira awamu okufufuggaza amaanyi amabi. Kyokka Balunabba teyakkiriziganya naye. Yalaba mu Makko obusobozi obw’enjawulo era n’atayagala kuleka muvubuka ono mabega. Obutakkaanya obwogi ng❜obwo bwe bwabalukawo wakati wa Pawulo ne Balunabba ku nsonga ya Yokaana Makko baayawukana buli omu n’akwata lirye, bulijjo abatabaazi bakwanya mikka. Pawulo ye yalonda Siraasi okugenda naye, ate ye Balunabba n’atwala Makko.

Bikolwa tannyonnyola Iwaki Balunabba yalondawo okugenda ne Makko. Mu butuufu, ekitundu kino ky’ekifo ekisembayo abasajja bano ababiri we balabikira mu Bikolwa. Naye ekinyuma, wano Makko ssi w’asemba okwogererwako mu Ndagaano Empya.

Soma Bakolosaayi 4:10, 2 Timoseewo 4:11, Firemooni 24, ne 1 Peetero 5:13. Bya buziba ki ebikwata ku kuddawo kwa Makko ennyiriri zino bye zoogerako?

Okukyuka okwewuunyisa kulabika okuba nga kwabaawo mu Makko mu ngeri ya ‘ennume ekula bigwo’ era nga n’ekigwo ekimu bwe kitalobera baana kuzannya. Mu bitundu bino, Pawulo alaga omuwendo gwa Makko gy❜ali n’eri Omulimu gwonna okutwaliza awamu. Pawulo amubala ng’omu ku bakozi banne era ayagala Timoseewo ajje naye. Peetero ekisooka kirage nti Peetero naye yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Makko ono. Ebitabo bino ebyawandiikibwa Pawulo ne Peetero biteeberezebwa okuba nga byawandiikibwa ku ntandikwa y’emyaka gya A.D. 60, emyaka nga 15-20 oluvannyuma lw’ekyabaawo kino mu Bikolwa 15. Kitangaavu nti Makko yabbulukukira ddala okuva mu kulemwa kwe, ate nga mazima kino kyava ku kizibwe we, Balunabba kumukkiririzaamu n’amuzzaamu amaanyi.

Lowooza ku kiseera ggwe oba mukwano gwo bwe mwalemererwa kyokka ne muweebwa omukisa ogw’okubiri. Ebyo bye mwayitamu byabakyusa bitya? Byawunda bitya obuweereza bwammwe eri abalala?

WALUMBE (TUESDAY) | Kasambula (July) 2

Omubaka

Soma Makko 1:1-8. Bantu ki aboogerwako mu nnyiriri zino, era biki bye boogera era bye bakola?

Ennyiriri zino zirimu abantu abakulu basatu: Yesu Kristo, ayogerwako mu Makko 1:1, Katonda Taata (ategeezebwa mu bigambo bya Makko 1:2), ne Yokaana Omubatiza, omubaka era omubuulizi w’obutuukirivu; oyo ajja n’afuuka ensonga enkulu mu kanyomero akasembayo mu kitundu kino.

Makko 1:2, 3 zirina ebigambo ebinokoddwa okuva mu Ndagaano Enkadde Makko by’alaga ng’ebinnyonnyola ekinaabeerawo mu lugero luno. Makko ky❜anokolayo kwe kutabula ebigambo okuva mu bitundu bisatu: Kuva 23:20, Isaaya 40:3, ne Malaki 3:1.

Soma Kuva 23:20, Isaaya 40:3, ne Malaki 3:1. Ebitundu bino byonsatule birina ki kye bifaanaganya?

Kuva 23:20 wasonga ku malayika Katonda gw’ajja okuweereza mu maaso ga Isiraeri okubatwala e Kanani. Isaaya 40:3 lwogera ku Katonda alabikira mu ddungu nga n’oluguudo mwasanjala lutegekedwa mu maaso ge. Malaki 3:1 lwogera ku mubaka akulembera Mukama okumuteekerateekera ekkubo lye. Ebitundu bino byonna byogera ku lugendo.

Ekyawandiikibwa kino mu Isaaya kikwatagana nnyo n’obuweereza bwa Yokaana omubatiza era kisonga ku Kkubo lya Mukama. Mu Njiri ya Makko, Mukama Yesu ali mu lugendo. Ekinnyonnyola kino ekyanguyiriza kituleetera okwongera okulowoolereza ku lugendo luno, olugendo olujja okumutuusa ku musaalaba, yeeweeyo nga ssaddaaka ku lwaffe, atufiirire!

Kyokka bingi ebiteekeddwa okubaawo nga tannatuuka ku musaalaba. Olugendo luno lutandika butandisi, era Makko ajja kulutubuulirako.

Mu kwekuumira ku kinokoddwa okuva mu Ndagaano Enkadde mu Makko 1:2, 3, Yokaana Omubatiza akowoowoola abantu eri okwenenya ebibi byabwe, okukyuka okuva ku bibi byabwe, n’okukyukira Katonda (Makko 1:4). Ng’ayambadde nga Nabbi Eriya ow’edda (geraagweranya ne 2 Bassekabaka 1:8), ayogera mu Makko 1:7, 8 ku Oyo ajja ennyuma we ow’amaanyi amangi okusinga ye. Ebigambo bye nti tagwanidde na kusiba lukoba lwa ngatto Ze biraga obusukkulumu bwa Yesu.

MUKASA (WEDNESDAY) | Kasambula (July) 3

Okubatizibwa kwa Yesu

Soma Makko 1:9-13. Ani aliwo ku kubatizibwa kwa Yesu, era kiki

ekibaawo?

Yokaana abatiza Yesu mu mugga Yoludaani, naye amangu nga yaakava mu mazzi alaba eggulu nga libikkuka era Omwoyo Omutukuvu ng’amukkako mu kifaananyi ky’ejjiba. Awulira eddoboozi lya Katonda okuva mu ggulu nga ligamba nti, “””…Ggwe Mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo”” (Makko 1:11).

Bino byonna ebibaawo bisonga ku bukulu bw’okubatizibwa kwa Yesu. Taata, Omwana ne Mwoyo Mutukuvu bonna weebali, nga bonna wamu bajulira entandikwa y’obuweereza bwa Yesu. Omugaso gw’ebyabaawo bino gujja kuddamu guwulikike mu ngeri eya nnakyeyitabya ku musaalaba mu Makko 15. Ebintu bingi ebiri mu mboozi eno ebijja okuddamu okulabika nate.

Omwoyo yatwala Yesu mu ddungu. Ekigambo “yatwala” kiva mu ky’ Oluyonaani ekballô, ekigambo eky’olukale ekikozesebwa mu Njiri ya Makko olw’okugoba badayimooni. Okubeerawo kwa Mwoyo Mutukuvu wano kiraga amaanyi ga Mwoyo Mutukuvu mu bulamu bwa Yesu. Mukama mweteefuteefu okutandika olugendo lw’obuweereza bwe, era bunnambiro ayolekanya obwanga ne Setaani. Ensonga y’olutalo mu kifaananyi kino eragibwa mu kusonga okukolebwa ku nnaku 40 ez’okukemebwa, okubeerawo kw’ebisolo eby’omu nsiko, ne bamalayika okuweereza Yesu.

Ekyawula ekitali kya bulijjo ekitandika Enjiri ya Makko ky’eky’okuba nti Yesu alagibwa nga omuntu ow’engeri ebbiri: Katonda era omuntu. Ku ludda lw’obwakatonda: ye Kristo, Masiya (Makko 1:1), Mukama yalangirirwa ng’omubaka (Makko 1:2, 3), ow’amaanyi agasinga ku ga Yokaana (Makko 1:7), Omwana omwagalwa Omwoyo gwe yakkako (Makko 1:10, 11). Naye ku ludda lw’obuntu, tulaba bino wammanga: Abatizibwa Yokaana (so ssi ye kubatiza Yokaana, Makko 1:9), atwalibwa Omwoyo Omutukuvu (Makko 1:12), akemebwa Setaani (Makko 1:13), abeera awali ebisolo eby’omu nsiko (Makko 1:13), era aweerezebwa bamalayika (Makko 1:13).

Lwaki okukontanya bino? Ensonga eri ku bwa ddala bwa Kristo obwewuunyisa, Mukama waffe era Omulokozi waffe, Katonda waffe, so nga era yali muntu, muganda waffe era eky’ okulabirako kyaffe. Tusabika tutya ebirowoozo byaffe mu bujjuvu ku nsonga eno? Tetusobola. Wabula tukikkiriza lwa kukkiriza era ne tuwuniikirira olw’ekyo amazima gano kye gabikkula gye tuli ku kwagala kwa Katonda eri olulyo lw’omuntu.

Kitubuulira ki ku kwagala kwa Katonda okwewuunyisa nti, newankubadde Yesu yali Katonda, yessaako obuntu bwaffe okusobola okutulokola?

KIWANUKA (THURSDAY) | Kasambula (July) 4

Enjiri Okusinziira ku Yesu

Soma Makko 1:14, 15. Bitundu ki ebisatu eby’enjiri Yesu bye yabuulira?

Makko afunza wansi wano obubaka bwa Yesu obwangu era obutuukira ddala. Ebitundu byabwo ebisatu biragiddwa wansi mu kitandaalo kino: Ettuluba

Obunnabbi bw’Ekiseera.

Ekisuubizo eky’omu Ndagaano.

Okukoowoolwa eri Obuyigirizwa.

Ebirimu

Ekiseera kituukirizibwa. Obwakabaka bwa Katonda busembedde.

Mwenenye era mukkirize enjiri

Obunnabbi obw’ekiseera Yesu ky’ asongako bwe bunnabbi obwa wiiki e 70 obwa Danyeri 9:24–27. Obunnabbi buno butuukirizibwa mu kubatizibwa kwa Yesu, awo w’afukirwako amafuta ga Mwoyo Mutukuvu era n’atandika obuweereza bwe (Bikolwa 10:38). Obunnabbi bwa wiiki e 70 obwewuunyisa bulagiddwa mu kipande kino wansi:

The 70 Weeks of Daniel 9

457 B.C.

69 Weeks

483 Literal Years

7 Literal Years

A.D. 27

A.D. 31

A.D. 34

Mu bunnabbi buno, olunaku

olumu lutegeeza omwaka mulamba (Kubala 14:34, Ezeek. 4:6).

Obunnabbi buno bwatandika mu 457

B.C. n’ekiragiro ekyaweebwa Alutagizerugizi, kabaka wa Buperusi, okumaliriza omulimu gw’okuzzaawo Yerusaalemi (laba Ezera 7).

Wiiki enkaaga mu omwenda ez’obunnabbi zeeyongerayo okutuuka mu A.D. 27, ekiseera Yesu we yabatirizibwa era n’afukibwako amafuta ga Mwoyo Mutukuvu ku ntandikwa y’obuweereza bwe.

Okukomererwa kwe kwali kwa kubeerawo emyaka esatu n’ekitundu

mu maaso.

N’ekisembayo, enkomerero ya wiiki ensanvu ya kubaawo mu A.D. 34 Suteefano w’akasuukirirwa amayinja n’obubaka bw’enjiri ne butandika okugenda eri Bannaggwanga, awamu n’eri Abayudaaya.

Wakoma ddi okuyiga ku bunnabbi bwa wiiki e 70? Okumanya obunnabbi buno kiyinza kukuyamba kitya okwongera ku kukkiriza kwo, si mu Yesu yekka, wabula mu bwesigwa bw’ekigambo eky’obunnabbi?

NAGAWONYE (FRIDAY) | Kasambula (July) 5

Okwongera Okulowooza:

Soma Ellen G. White, “The Voice in the Wilderness,” ku miko 97-108 mu The Desire of Ages, ne “Heralds of the Gospel,” ku miko 166-176 mu The Acts of the Apostles.

Nga kinyuma nti Kubikkulirwa 14:6, 7, obubaka bwa malayika omubereberye, bufaananira ddala n’obubaka bwa Yesu mu Makko 1:15.

Malayika asooka aleeta enjiri ey’emirembe n’emirembe eri ensi mu nnaku ez’enkomerero mu kweteekerateekera Okujja Okw’omulundi ogw’Okubiri. Okufaananako obubaka bwa Yesu, obwa malayika obw’ekiseera eky’enkomerero bulina ebintu bisatu ebiragiddwa mu kitanda kino wansi: Ettuluba Kubikkulirwa 14

Makko 1

Ekiseera Kyatuukirizibwa (Danyeri 9)

Obunnabbi obw’Ekiseera

Ekiseera eky’ Okusala Omusango (Danyeri 7, 8) Obwakabaka Okusembera Ekisuubizo eky’omu Ndagaano Enjiri ey’Emirembe n’Emirembe

Mwenenye, Mukkirize

Okukoowoolwa eri Obuyigirizwa

Mutye, Muwe Ekitiibwa, Musinze Katonda

Obubaka bwa malayika asooka bulangirira entandikwa y’okusalibwa kw’omusango ogukulembera okujja kwa Kristo, okwalagulwa mu bunnabbi obw’ennaku 2,300 obwa Danyeri 8:14, era okwatandika mu mwaka gwa 1844. Okusalibwa kw’omusango kuleeta obwakabaka bwa Katonda eri abantu be abayigganyizibwa (Dan. 7:22). Okukoowoola kwa malayika omubereberye okutya, okuwa ekitiibwa n’okusinza Katonda kwe kukoowoolwa eri obuyigirizwa, okuweebwa eri ensi mu nnaku envannyuma nga amaanyi g’ensolo eza Kubikkulirwa 13 zireeta katonda omukyamu ow’okutiibwa, ow’okuwa ekitiibwa, era ow’okusinzibwa.

Mu ngeri y’emu nga obubaka bwa Yesu mu Makko 1 bwe bukwataganyizibwa ku lusegere n’obunnabbi bwa Danyeri ku ntandikwa y’okubuulira enjiri, n’obubaka bwa malayika asooka bwe butyo bwe bukwatagana ne Danyeri mu kufundikira kw’ebyafaayo by’ensi. Ebibuuzo eby’ Okukubaganyaako Ebirowoozo:

1. Geraageranya era okontanye Yokaana Omubatiza ne Yesu mu Makko 1:1- 13. Byakuyiga ki eby’enjawulo bye weetwalira okuva ku ngeri gye biragibwamu? 2. Lowooza ku makulu g’okubatizibwa. Soma Baruumi 6:1-4 ne Yokaana 3:1-8, obigeraageranye n’okubatizibwa kwa Yesu mu Makko 1:9-13. Biki ebifaanagana n’ebyawuka by’olaba wano? Kino kikuyamba kitya okutegeera mu ngeri esingako obutangaavu amakulu g’okubatizibwa? 3. Geraageranya era okontanye enjiri okusinziira ku Yesu mu Makko 1:14, 15 n’obubaka bwa malayika omubereberye mu Kubikkulirwa 14:6, 7. Okutegeera obubaka buno kikuyamba kitya okulaba mu ngeri esingako obulungi omulimu gwo leero?

admin
Author: admin

Share to Your Friends

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *